Obulamu obw’obuwanguzi mu Kristo kye ki?
Okukakasibwa nti twakirizibwa era twagalwa Katonda
Okuwulira okuberawo kw’Omwoyo Omutukuvu
Okuwulira Katonda ng’Ayogera naffe
Okubera n’eddembe okutuukiriza ebisubizo byaffe
Okuddibwamu esaala zaffe
… N’EBIRALA BINGI DDALA!!
Emisomo gya Baibuli
Waliwo emisomo gya Baibuli 3 egy’enjawulo z’osobola okufuna ku mukutu gwaffe guno, nga gyonna giri mu Luganda! Gisobola okukozesebwa kinnomu oba mu kabina ak’abantu akatono:
Omusomo gwa Baibuli ‘ogw’okutukilira’ 👇
Omusomo gwa Baibuli ‘ogw’essente’ 👇
Omusomo gwa Baibuli ‘ogw’ebisokerwako’ 👇
Obuwanguzi mu bulamu obw’obu Kristayo
Yesu Kristo Waffe Yawayo obulamu bwe okutununula okuva mu bibi byaffe! Bangi ku ffe tulemelerwa okwetwalira eddembe lino Yesu Kristo lye yatuwangulira! Ekitabo kino kituyamba okwetegereza ebitundu ebyo mu bulamu bwaffe mwe tutanafuna ddembe lino. Okuyita mu kunnyonnyola n’esaala ez’okulabirako, ekitabo kituyigiriza engeri z’okwenenya n’okusonyiwagana nga ebisumuluzo bye tuyinza okuba nga tubade tetubilowozangako. Nga tuyita mu kitabo kino era nga tuli mu saala, tusobola okukozesa ebisumuluzo bino mu bulamu bwaffe; ne tusobola okuteebwa n’okuweebwa obusobozi okutambulira mu bulamu Yesu bw’atwagaliza. Olwo nno tujja kuba tuwereddwa obusobozi n’okusobola okuyamba abantu abalala nabo okuteebwa!
Okubera mu bulamu obw’obu Kristayo obw’obuwanguzi
Omukutu guno gukwanjulira emisomo n’esaala egyesigamiziddwa ku Baibuli okutuyamba okuteebwa mu buzibu bwonna mu bulamu bwaffe, n’okwongela otusembeza eri Katonda!
Okuwonyezebwa
Yesu Ye Muwonya
Mu Baibuli, buli muntu eyagendanga eri Yesu yawonyezebwa, era ne kakano Akyawonya abantu. Nga oyagala okuwonyezeebwa mu mubiri, oyinza okusaba Yesu Akuwonye. Osobola okwogera eri ekitundu kyo mubiri gwo ekyetagibwa okuwonyezebwa, kitekeko emikono gyo ogambe nti “WONYEZEBWA MU LINNYA LYA YESU!”
Oyinza okuyita abakadde b’ekanisa obasabe bakusiige amafuta bakusabile ‘esaala y’okukiriza’ ku lw’endwade yo.
Baibuli etugamba nti tuli myoyo – tuli MWOYO, MMEEME, N’OMUBIRI. Ebikwatako mu mwoyo era bitukwatako ne mu mubiri. N’olw’ensonga eyo, okuwonyezebwa kw’omubiri ebisera ebisinga kulina akakwate n’okuwonyezebwa kw’omwoyo.
Obutasonyiwa y’emu ku nsonga enkulu ezilemesa okuwona mu mubiri.
Abantu bangi bawonyezeddwa okuva mu bibonobono nga basaba mu ngeri eno. Mu bino mulimu:-
· okuwonyezebwa okuva mu bwa kigala n’obutayogera
· ebinnywa ebyakosebwa nebiterezebwa
· kansa owa mabeere n’abulila ddala n’awonyezebwa
· omugongo oguwona
· amagumba gadda mu ntekko
· entunnunsi zikakkana nezidda mu nteeko
Ebyamagero bino byakolebwa mu Linnya lya Yesu nga abantu basonyiwa era nga benenya nga basaba Yesu Abawonye.
Olusi okuwonyezbwa si kwa mbagilaawo nga kyetagisa okunywerera mu kusaba. Bwetusaba, tuba n’okukkiriza kubanga Yesu Yasubiza okwanukula buli saala entufu.
Yongera okusoma Baibuli weyogera ku kuwonyezebwa
YESU YE MUWONYA – Yesu nabawonya bonna (Matayo 15:29-31)
YESU YATWALA ENDWADE ZAFFE – Emiggo egyamukubwa gye gituwonya (1 Petero 2:24; Isaaya 53:5)
YESU YAGAMBA ABAMUKKIRIZA BAWONYE ABALWADDE – Yawa abayigirizwa be amaanyi n’obuyinza okuwonya buli ndwade (Lukka 9:1-2)
ABAKKIRIZA BAWONYE ABALWADDE. Abakkiriza banasobolanga okuteeka emikono ku balwadde ne bawona (Makko 16:18)
YITTA ABAKADDE BASABE – Abakkiriza bayitenga abakadde b’ekkanisa basigenga abalwadde amafuta era babasabirenga okuwonyezebbwa kwa balwadde (Yakobo 5:14)
YESU ALINA AMAANYI OKOLA EKINTU KYONNA – Yesu ng’Akozesa amaanyi ge agasinga byonna Asobola okutukkiriza ebisinga ku bye tulowooza (Abaefeso 3:20)
SABA MU LINNYA LYA YESU – Yesu Yagamba “Bwe munasabanga ekintu kyonna mu Linnya lyange ekkyo Nnakikolanga” (Yokaana 14:14)
Ebikozesebwa ebiyinza okuyamba bibino:
Youtube video z’enkungana z’okuwonyezebwa eza Charles ne Francis Hunter. Era n’emisomo gy’okuwonyezebwa eza Randy Clark.
Kyetagisa okwekenenya ensonga lwaki oyagala okuwonyezebwa. Okuwonyezebwa kwo kukwatagana kutya n;okuwulila Yesu? Bw’onowonyezebwa Yesu onomukolera ki?
Obusika bw’obuzaliranwa
Bwetubuuza abaKristayo oba batambulira mu bulamu obw’eddembe ebiseeera ebisinga bagamba, ‘Ddala, ddala!’ naye bwebekenenya obulamu bwabwe n’obwa famile zabwe, balaba nti aba famile zabwe abasinga bali mu kutawanyizibwa ensonga oba ebizibu ebidiringana.
Ow’oluganda omu gwe twayogera naye yagamba, ‘Mazima, ntambulila mu bulamu obw’omukisa!’, naye bwetwagenda e buziba ku bulamu bwe n’embeera ye twakilaba nti aba famile ye, wamu naye kenyinni bali tebalina bulamu bwa mukisa; muto wabwe omu yafila mu kabenje ka motoka era ne kitabwe yaffa bwatyo, muganda wabwe omulala yalina okusomozebwa mu by’ensimbi wadde waliwo enyingiza y’ensimbi emala kale buli memba wa famile yalina okusomozebwa ebintu Yesu byeyajjila ddala okubannunulamu! Kino kyaba, okutwalira awamu, okuva mu bibi ebitayatulwa oba ebitenenyezebwa eby’emirembe gya famile yabwe egyayita ne bileta okulumizibwa eri buli kinnomu mu famile yonna.
Ebizibu byonna tebivawo bw’ofuka omuKristayo. Yesu teyasubizako nti obulamu bwaffe tebulibamu bizibi. Naye AbaKristayo balina okuweebwa omukisa, n’obulamu n’embeera ennungi, n’enkolagana ennungi, n’ensimbi ezimalaokuberawo era n’okukola ekyo ky’Akusaba okukola. Wewawo wadde wayinza okubawo obuzibu mu lugendo, Ajja kusobozesa okuba omuvumu n’okuwangula mu buzibu n’okuyiganyizibwa.
Osobola otya okukakasa nti obela mu mikisa gyonna Yesu gyeyakuwangulira? Kino tukinyonyodde mu suula mu kitabo kyaffe eky’okusomera ku mutimbagano ekyo ‘Obulamu obw’obuKristayo obw’obuwanguzi’. Osobola okufuna esuula eno ku mutimbagano, gisome era wekolemu omulimu ku lulwo oba oli mu bulamu obw’omukisa omujjuvu. Era bw’oba sibwe kili, osobola okuvumbula kiki ky’osobola okukola ku lulwo okufuna emikisa egyo Yesu gy’Alina egigyo.
Okwanganga ekibi eky’obuzaliranwa oba oli awo kye kimu ku kubikulirwa okwa manyi ennyo okwantukako mu bulamu bwange.
Kitawe we mukwano gwange yalaba ebikolimo nga bitambulira mu bulamu bwe ne mu bulamu bwa baana be. Kino bweyakibikulirwa yayayanila okufuna obuyambi okuva eri Yesu n’okufuna emikisa gy’obwa Katonda mu bulamu bwe.
Olwo kiki ky’olinda? Nyiga bunyizi akapesa ku mutimbagano otandike olugendo lw’okununulwa mu Kristo.
Okubera mu bulamu obw’obu Kristayo obw’obuwanguzi
Omukutu guno gukwanjulira emisomo n’esaala egyesigamiziddwa ku Baibuli okutuyamba okuteebwa mu buzibu bwonna mu bulamu bwaffe, n’okwongela otusembeza eri Katonda!